
Poliisi erumirizza emikutu gy’amawulire okutataganya akatambi k’omuwagizi w’ekibiina kya FDC eyayambuddwa engoye nga akwatibwa nebaraga nga poliisi bweyakoze kino.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategezezza nga omukyala ono bweyeyambuddemu engoye nga bamukwata sso ssi poliisi nga ab’amawulire bwebalaze mu katambi kaabwe.
Enanga ategezezza nga poliisi kati bwetandise okunonyereza okulaga eggwanga amazima nti ddala ssibebamwambudde.
Mukyala Fatuma Naigaga mu kiseera kino akuumibwa ku poliisi ya CPS wamu n’abaserikale abakyala 3 abagambibwa nti bamwambudde nga bamukwata.
Bano kuliko Miriam Kabugho, Enid Kabamanya ne Grace Adit
Ate kyo ekibiina ekigatta bannamateeka mu ggwanga kivumiridde engeri poliisi gyeyakuttemu omuwagizi w’ekibiina kya FDC n’atuuka n’okugyibwamu engoye.
Akulira ekibiina kino Ruth Sebatindira agamba omukyala ono y’akwatiddwa nga kyakuttale kale nga gavumenti esaanye okusomesa abaseikale baayo ku ngeri gyeyinza okukwatamu abantu naddala nga eggwanga lisemberera akalulu ka 2016.
Sebatindira agamba obuvuyo bingi bwakubeerawo mu kiseera kino kale nga poliisi erina okumanya butya bweyinza okukwata obulungi abantu awatali kubawebuula.
Ye eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi ategezezza nga gavumenti bwesaana okukangavvula abesikale ba poliisi abatulugunya abantu bebakwata nebatuuka n’okubaswaza nga babambula.
Mu kiwandiiko ky’afulumizza amakya galeero, Mbabazi ategezezza nga bwewataliiwo kunyonyolwa kwonna kumala ku ky’okutyobola eddembe ly’obuntu kale nga kisaanye okukoma.
Anyonyodde nga eryanyi eryakozeseddwa ku akwatidde ekibiina kya FDC bendera ku bwapulezidenti Dr. Kizza Besigye ne banne bwebabadde bagenda okukuba olukungaana e Rukungiri bweryabadde teryetagisa.
Ategezezza nga ekya poliisi okukwata abakyala nga ebisaaniko bwekisaanye okukoma kubanga kityobola ekitiibwa kyabannakazadde b’eggwanga.
Besigye n’abamu ku bawagizi be bakwatibwa ku lwomukaaga nga poliisi ebatangira okukuba olukungaana e Rukungiri.