Bya Samuel Ssebuliba.
Omukulembeze we gwanga Kaguta Museveni asabye abantu be Bujuri obutakola nsobi ku lw’okutaano , wabula balonde munna-NRM Francis Okecho nga omubaka wekitundu kino nga 27th Friday.
Bwabade ayogerera mukuyigga akalulu kamunna-NRM agambye nti NRM sikibiina kyakwogera wabula kukola, era nga kino kyeragidde kunguudo ezikoleddwa.
Ono mungeri yeemu agambye nti ku nsonga y’amazzi abantu tebagenda kujula , kubanga amazzi gagenda kutuuka
Ate ye munna-JEEM, Asuman Basalirwa agambye abamuvuganya bakoze kinene okumwonona, wabula bino byonna abigumidde okutuusa lwatuuse wano.
Kati ono abasabye okumuwagira, ate bakuume n’akaulu.