Uganda olwaleero yegasse ku nsi yonna okukuza olunaku lw’ebyebibira.
Olunaku luno lukuzibwa buli nga 21 March okwongera okumanyisa abantu obukulu bw’ebibira.
Buli mwaka abantu absomesebwa ku bibira bino okulaba nga tebisaanawo.
Kati minisita omubeezi ow’ebyobutonde bwensi Flavia Munaaba agamba olunaku luno ssilwakujaguza wabula kusomesa bantu ngeri y’okukuumamu ebibira.
Abalwanilira obutonde bw’ensi beralikirivu olwa hectares emitwalo 9 ez’ebibira ezisanyiaibwawo buli mwaka.
