Mbale ewali omusango ogw’okukyusa mu ssemateeka agavaayo galaga nga abalamuzi ba kooti ejulirirwamu babiri bwebakaanyiza ku ky’okugaana ababaka okweyongeza emyaka bave ku etaano okudda ku musanvu.
Omulamuzi Elizabeth Musoke akaanyiza ne justice Chebrion Barishaki nti ababaka tebagoberera ssemateeka nga beyongeza emyaka.
Omulamuzi Musoke bwatuuse ku nsonga y’okugoba ababaka mu parliament, agambye nti kino kyali kigwana kubanga ababaka bali bakola efujjo, wabula eky’okubatwala nga mwanga agambye nti tekyali kituufu.
Kinajukirwa nti abalamuzi bano bali 5, era nga anaawangula alina okubeera nababaka waakiri basatu nga bawagidde ensongaze.
Mukaseera kano omulamuzi Keneth Kakuru yali mukusoma ensalaye.
//////