Bya Damalie Mukhaye
Okufulumya ebigezo ebyakamalirizo ebyomwaka 2020 ebyekibiina kya P7 kukyali mu lusuubo, oluvanyuma lwentekateeka okugotanyizbwa ekirwadde kya ssenyiga omukambwe.
Ekitongole kyebigezo mu gwanga Uganda National Examinations Board baali bategese okufulumya PLE wiiki eno nebya S4 omwezi ogujja wabula olwomuggalo ogwennaku 42 kirabika tekijja kusoboka.
Omwogezi we’kitongole kuebigezo, Jenipher Kalule agambye nti bakyasobeddwa tebamanyi kigenda kuddako.
Kinajjukirwa nti abayizi abali mu mitwalo 70 bebatuula PLE owomwaka 2020.