Bya Ivan Ssenabulya
Ekitongole ekivunanyizibwa ku bantu abayingula nokufuluma egwanga bayimirizza abantu okweyanjula ku kitebbe okukola yintaviyu z’okusaba paasipoota okumala ennaku 42 ez’omuggalo gwa ssenyiga omukambwe.
Bino bitekeddwa mu biragiro minisitule yensonga z’omunda mu gwanga byefulumizza okusobola okutangira okusasaana kwa ssenyiga omukambwe.
Omwogezi wa minisitule Jacob Siminyu wabula agambye nti okusasaula kwakugenda mu maaso, naye teri atekeddwa kukola appointment atenga nabaali baweebwa appointment baakuddamu baweebwe ennaku endala
Okujjayo paasipoota kwakukolebwa eri abo bokka abatalina oba emergency.
Ono agambye nti nokusaba visa nebiwandiiko ebiralala kwakugenda mu maaso era ku mutimbagano.
Ono era alabudde nabantu babulijjo abayingira egwanga, nga bakozesa obuwnjuwunju nti bakikomye, kubanga baakukwatibwako mu mateeka.