Bya Ivan Ssenabulya
Minisita webyokwerinda bye gwanga bunnambiro avuddeyo okuwakanya amawulire agasasanye nga gamubika.
Amwulire gokufa kwa Gen Elly Tumwine gabadde gasasanidde ku mikutu muyunga bantu egyenjawulo, okuva mu budde bwokumakya.
Wabula Tumwine ayise ku twitter, nabikanya.
Mu bubaka bwe agambye nti banna-Uganda,
Kansubire muli bulungi, mbasaba temukiriza mu mawulire agobulimba agalaga nti nafudde.
Akakasizza nti mulamu, ssi mulwadde ate tai mu ddwaliro nga bwebyogerwa.