
Akakiiko k’ebyokulonda ak’ekibiina kya NRM olwaleero lwekatandika okutegeka akamyufu kaba ssentebe b’ebyalo, abantu ab’ekikula ekyenjawulo ssaako n’abakulembeze b’ebyalo.
Okulonda kuno kwalina okukwatibwa olw’okutaano oluwedde wabula olw’ebyensimbi okukaluba nekwongezebwayo okutuusa olwaleero.
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda ak’ekibiina Dr Tanga Odoi agamba okulonda kwakutandikira mu bitundu by’e Karamoja ate ku lwokusatu bajje mu Kampala.
Tanga agamba baalonze dda abalondesa ku byalo byonna emitwalo 6 nga era poliisi bagitegezezza dda ku bigenda mu maaso.