Skip to content Skip to footer

Abalemesa ebinazi beetaga masasi- Museveni

File photo: Omutti gwe ebinaazi
File photo: Omutti gwe ebinaazi

Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni atabukidde abantu bonna abagezaako okuwakanya enteekateeka y’okulima ebinazi mu disitulikiti ye Kalangala n’ategeeza nga bwebasaana okukubwa amasasi .

Museveni okwogera bino abadde ku Kisaawe e Kibanga mu kwogerako eri abantu abenjawulo abaabadde bakungaanye oluvanyuma lw’okutongoza emirimu egikoleddwa mu disitulikiti  eno omuli amasanyalaze, amazzi, enguudo , ebidyeeri ebikoleddwa ekitongole kya Kalangala Infrustructure Service, ekkolero epya ery’ebinazi awamu n’etterekero ly’ebigimusa.

Ebiseera ebiyise, abantu ab’enjawulo okuva mu bibiina by’obwanakyeewa bazze bategeeza nti okulima ebinazi e Kalangala kyoonoona obutonde bwensi ate nga n’abantu bangi bazze babbibwa okusinziira ku ngereka y’emiwendo gyebinazi mu disitulikiti eno

Kyokka Museveni ategeezeza nti abo bonna abawakanya enkulakulana eno babeera bakotoggera abantu babulijjo abaalima ebinazi era nga mu kiseera kino beetaaga kukangavvulwa.

Museveni yagambye nti buli kkolero ly’ebinazi liyingiza obukadde 40 eza doola ssonga n’omuntu wa wansi aganyulwa mu buli yiika eba alimiddwa ebinazi nga afuna emitwalo 25  buli mwezi.

Leave a comment

0.0/5