Abalwanyisa obuli bw’enguzi mu ggwanga baagala gavumenti yesonyiyire ddala eby’okugaba ettaka ly’ebyobulimi bw’eggwanga erye Namulonge.
Ettaka lino lyali lyawebwa nagagga Sudhir Ruparelia alimireko ebimuli.
Akulira ekibiina ekirwanyisa obukenuzi ekya anti-corruption coalition Uganda nga ono ye Cissy Kagaba agamba ettaka lino lyankizo nyo mu by’okunonyerezeza ku by’obulimi mu ggwanga.
Kagaba agamba singa ligabibwa eby’obulimi byakukosebwa nyo sso nga biwa bannayuganda 80% emirimu.
Wano w’asabidde bekikwatako bonna basitukiremu okuwakanya eby’okuwayo ettaka lino kubanga eggwanga liryetaaga.
Gavumenti ebadde ekyayimirizza okugaba ettaka lino nga okunonyereza bwekugenda mu maaso.