Kkooti eyisizza ebibaluwa bibakuntumye eri omusawo munnayuganda abeera mu ggwanga lya Australia Dr. Aggrey Kiyingi n’akulira abayeekera ba ADF Sheikh Jamil Mukulu.
Ebibaluwa bino biyisiddwa omulamuzi wa kkooti e Jinja Imran Kintu bw’ategezezza nga bano bwebalina kyebamanyi ku ttemu erizze likolebwa mu bitundu bye Busoga.
Bano balina okweyanjula mu kkooti nga April 2nd oba ssi kyo bakwatibwe.