Emirimu gisanyaladde ku kkooti ye Buwama oluvanyuma lw’ababbi okuyingirira kkooti eno nebabbamu fayilo z’emisango n’ebyuma bikalimagezi byebatuusizzako engalo.
Kkooti eno eriranye ekifo ekisanyukirwamu ekya Buwama Community Centre nga era abazigu bakozesezza akakisa k’endongo eyabadde esindogoma obutediza nebamenya.
Omulamuzi w’eddala erisooka owa kkooti eno Naomi Sifoyo ategezezza nga abakuumi 2 bebalina bwebamazemu dda omusubi.
Ye omu ku bakulira okunonyereza ku misango ku poliisi ye Buwama Eric Chandiya ategezezza nga okunonyereza bwekukyagenda mu maaso nga era ababbi bano bakukwatibwa bavunanibwe mu kkooti yenyini gyebamenye.