E Bukomansimbi Waliwo omukinjaaji abbye embuzi y’omutuuze atabbika okukakana nga amuloze n’afa nga akaaba nga yo.
Niga Ssekabira bukyanga abba mbuzi ku kyalo ekiriranyewo abadde akaaba nga nakabege nga era atambula nga yo ssaako n’okuleekanira waggulu nti mubbi wambuzi.
Ssekabira afudde yegayirira nanyini mbuzi amusonyiwe amwambulule eddogo lyeyamusindikira wabula nga buteerere.
Nanyini mbuzi y’awadde Ssekabira essaawa 2 zokka okusasula emitwalo 20 oba sikkyo mufu era bwekibadde.
Omwogezi wa poliisi mu bukiika ddyo bw’eggwanga Noah Sserunjoji akakasizza okufa kwa ssekabira n’ategeeza nga omuyiggo gwa nanyini mbuzi bwegukyagenda mu maaso.
Omulambo gwa ssekabira gutwaliddwa mu ddwaliro okwongera okwekebejebwa.