Kyaddaaki ekkolero ly’emifaliso erya Crest foam liguddwawo oluvanyuma lw’omuliro ogwakwta ebizimbe mwerili nemufiiramu abantu 6.
Minisita w’abakozi Kamanda Bataringaya ategezezza nga ekkolero lino bwerituukirizza ebyetagisa okukuuma abakozi ku mirimu nga kati baddembe okuggulawo.
Bataringaya agamba alipoota ku muliro guno yakufuluma era esomebwe eri bannayuganda essaawa yonna.
Ye akulira ekkolero lino Joselyn Kateeba ategezezza nga bwebagenda okugoberera buli kyatagisa okulaba nga akabenje nga kano tekaddamu kubaawo.
