Gavumenti erabuddwa okukomya okukozesa eddagala lya DDT mu kufuuyira ensiri okulwanyisa omusujja gw’ensiri.
Okusinziira ku kunonyereza okukoleddwa ab’ekibiina ekirwanyisa omusujja gw’ensiri ekya Uganda Network on Toxic Malaria Control, eddagala lya DDT lirimu ebirungo ebyomutawaana eri obulamu bw’abantu.
Nga ayogera ku mikolo gy’olunaku lw’omusujja gwa Malaria mu nsi yonna olw’okukuzibwa olunaku lwenkya, omuwandiisi w’ekibiina kino Ellady Muyambi ategezezza nti yadde nga eddagala lya DDT likendeeza abantu abafa omusujja gw’ensiri okutuuka ku bantu 42% gyerifuuyiddwa bangi bakoseddwa mu bulamu bwabwe.
Muyambi era agambye nti okunoyereza kwebakoze kulaze nti singa omuntu asika ebirungo mu ddagala lino nerimuyingira munda, asobola okufuna ebika bya kkookolo ebyenjawulo.
Kati bano basabye gavumenti ekozese eddagala eddala eritakosa bulamu bwabantu nga obutimba bw’ensiri.
