Bya samuel ssebuliba.
Polisi mu district ye Kapchorwa ekutte abantu bataano nga bonna baaluganda, nga bano ebalanze kudda ku kitaabwe nebamutta.
Abaakoze kino kuliko omukyala Kyerengati Beatrice ow’emyaka 45, nga ono yekobaanye n’abanabe 4 nebatta kitaabwe Patia Andrew nga bamulanga kuwasa mukyala mulala.
Ayogerera polisi yeeno Rogers Tayitika agamba nti omwami ono kakano omugenzi yabadde awasizza omuwala omulala omuto, kale kino kyanyiziza nyo abaana bano ne nyaabwe , okukakana nga bamufumise ebiso ebyamusse.
Mukaseera kano bonna police ebakutte, bagayambeko mukunonyereza.