Bya Samuel Ssebuliba.
Omubaka wa Kyadondo East ayanukudde banabyabufuzi abagufudde omuze okumuneya olw’okutabika eby’obufuzi n’okuyimba.
Bino webigidde nga police nate yakaddamu okugaana omubaka ono okuyimba newankubadde parliament yali ebalagidde obutaddamu kutaataaganya mubaka ono.
Kati ono agamba nti enkola eno NRM yeyagitandika bweyasasula abayimbi okuyumba enyimba nga Tubonga Naawe mukulonda kwa 2016 , kyoka ate bwerabye abalala nga beegasse ku mugendo, olwo netandika okukankana.
Kati ono agamba nti ekigendererwa kyatagenda kuvaako kwekulaba nga akozesa enyimba okuzuukusa abantu batandike okumanya edembe lyabwe , nga kw’ogasse n’obuvunanyizibwa bwabwe nga abatuuze ba Uganda.
Ono agamba nti kyanaku okulaba nga government eyagala eby’obufuzi byebiba bikyusa ekisaawe ky’okuyimba, kyoka ye bwagezezaako okukozesa ekisaawe ky’ebyokuyimba okukyusa eby’obufuzi ate government neetaama
Wabula yo police eze egamba nti omubaka ono yalemwa okugondera amateeka agafuga ebyenkunganana .