Bya Ben Jumbe.
Tutegeezeddwa nga omubaka we saza lye Aruu Odongo Otto bwatakyali mu bulabe , oluvanyuma lw’okufuna akabenja akaamaanyi mukiro ekikeeseza olwaleero.
Twogedeko n’omubaka wa Pader Oketayot Lowila naagamba nti emotoka egenda okutambuza omubaka ono okumuja e Luwero weyafunidde akabenje okumuleeta e Kampala etuuse era nga akadde konna wakuleetebwa mu Kampala ayongere okujanjabibwa.
Omubaka ono yafunye akabenjeku kyalo Katugo wano e Luweero emotoka mweyabadde number UBA 832S bweyayingiridde ekimotoka ekyabadde ku kubo namba UAV 837 ekyabadde kigudde kyabugazi mu luguudo.
Ono mukaseera akyali mu dwaliro elya Lachor hospital wano e Kansana Luweero.