By Ivan Ssenabulya.
Banamateeka boogedde ku mwaka 2018 nga omwaka ogubadde ogw’okusika omuguwa eri bannayaganda naddala bwekituuka mu by’amateeka n’obwenkanya.
Twogedeko n’akulira ekitongole ekitakabanira edembe ly’obuntu ekya Legal Aid Service Providers Network, Sylvia Namubiru nanokolayo ebikolero ebikoleddwa kubannayuganda gamba nga okusiba abantu mungeri emenya amateeka okumala ebanga egwangavu,okukwata abantu mu bukwmbwe obwekitalo, obuttemu n’ebirara byagamba nti byebisaanikidde omwaka guno gwetumalako.
Wabula ono agamba nti banamateeka nabo mu mwaka guno baliko byebasobodde okutuukiriza, okuleetawo enkola ey’okumalawo misango mungeri ey’okuteesa kiyite plea bargain, okutuuza abantu nebakola ku nkayana zaabwe mulujudde,kiyite open courts n’ebirara bingi