Bya Getrude Mutyaba.
Omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga era nga omubaka wa Bukoto South mu masaka Edward Kiwanuka Ssekandi asabye banna Uganda okujjumbira okulonda ba Sentebe ba LCI mu kalulu akabindabinda.
Ssekandi agamba nti ba sentebe ba LCI bakola omulimu munene nyo kubanga bebatuukibwako ensonga era nebazitwala gy’ezirina okulaga okusobola okugonjolwa.
Ssekandi agamba nti bo bwebabeera mu bitundu gyebabaweerereza gamba nga Kampala ,tebasobola kumanya bizibu biruma bantu , kale nga y’ensonga lwaki abakulu bano bakola omulimu munene nyo.