Skip to content Skip to footer

Abaaliko bamusayimuto ba DP bazeemu okwegatta.

Bya Ivan Ssenabulya.

Banabyabufuzi abaali mu kibiina ky’abanna DP bamusaayi muto aba UYD nate beekozeemu ekibiina ekigenda  okubagatta.

Bwabadde eyogerako nebanamawulire  kumukolo ogw’okugatta bano,  omubaka we Butambala Muhamad Muwanga Kivumbi agambye nti okugatta abavuganya gavumenti  bonna kyekigenda okumegga NRM.

Ono ategeezeza nti bonna abaaliko banna- UYD nebasuumuka olw’emyaka kati bagenda kwegatta balwane okulaba nga uganda eva mu kyebayise obuwambe.

Kati bano batadewo olwa nga 2nd May   nga olunaku lwebagenda okutongolezaako by’ebagenda okukola okutuukiriza ebigendererwa byabwe.

 

Abalala abakomyewo ewaka kuliko Mike Mabike, Samuel Walter Lubega, Mathias Mpuuga, Lyandula Komakech n’abalala.

Leave a comment

0.0/5