Bya Ritah Kemigisa.
Akakiiko akakola ku by’okulonda katadewo olwa nga May 31st nga olunaku abantu be Rukungiri kwebagenda okulondera omubaka waabwe omukyala anabakiikirira mu parliament.
Bwabadde ayogerako ne banamawulire,amyuka ssentebe w’akakiiko kano Hajjat Aisha Lubega agambye nti baalonze olunaku luno nga bakwataganira dala neteeka erigamba nti okulonda kuno tekulina kusukka nga 3rd June.
Kati ono agamba nti entekateeka yonna yakuutandika nakulongoosa nkalala z’abalonzi okutandika nga 16 kukome nga 20th April, ate olwo waberewo olwebuuza ku bakwatibwako ensonga , nga kuno kwakubaawo nga 19th April.
Kwo okunsulamu abagenda okuvuganya kwakubawo wakati wa nga 2nd ne 3rd May, olwo kakuyege aberewo wakati wa 4th okutuuka nga 29th May.
Kinajukirwa nti kino ekifo kyasigala nga kikalu oluvanyuma lwa kooti okugobayo omubaka eyaliyo Winfred Komuhangi nga ono munna NRM.
