Bya Damalie Mukhaye
Poliisi eyisizza amateeka agagenda okugobererwa, mu bikujjuko byokwaniriza omwaka omugya 2019 ku Lwokubiri lwa wiiki ejja.
Bwabadde ayogera ne banamwulire ku kitebbe, omwogezi wa poliisi mu gwanga Emilia Kayima agambye nti bawadde ebiffo ebisanyukirwamu 762 byokka olukusa okukuba ebiriroriro oba fireworks, kalenga abanawaganyala, bakukangavvulwa.
Abagenda okukuba fireworks era balagiddwa okulanga eri abantu, bakukumibwa poliisi okwewala obubenje nebiralale biyinza okudirira.
Poliisi era egaanye okwokya ebipiira mu makubo.