Abatuuze be gombolola ye Buwama mu disitulikiti ye Mpigi bekumyeemu ogutaaka nebasima ebinya wamu n’okusuula emisanvu mu kkubo, nga bagamba nti disitulikiti ye Mpigi eremereddwa okukola enguudo zaabwe.
Bano bazibye oluguudo oluva e Mpigi okudda e Butambala okutuuka e Gomba nga bagamba nti lufuuse kizibu okuyitibwamu olw’enkuba etonnya obutasalako.
Wabula ye ssentebe wa disitulikiti ye Mpigi, John Bosco Luwakanya agambye nti oluguudo luno sirwaabwe wabula ekitongole kya Uganda National Roads Authority kyekirina okulukola.
Ate bbo
Abatuuze mu zooni ya Nanfuka e Nateete balajaanidde ekitongole kya Kampala Capital City Authority okuvaayo okubazimbira emyala kikendeeze ku mazzi agabayingirira buli nkuba lwetonya.
Bano abasangiddwa nga baanika ebintu byaabwe oluvanyuma lwenkuba eyasuze ng’enfudemba.
Bino webibadde ne mu bitundu ebirala omuli Katanga,Ndeeba ,Nalukolongo nga bantu basuzze batudde.
