Ab’ekibiina kya FDC baagala gavumenti ekomyewo kuno eyali omuyambi wa DR Kiiza Besigye ono nga ye Sam Mugumya nebanne abalala 4 abaakwatibwa munda mu ggwanga lya DR.Congo.
Mugumya nebanne bano baakwatibwa nga basala ensalo okwesogga Congo mu 2014.
Mugumya ono yategeezako olupapul;a lwa Daily Monitor nga bweyali adduka mu Uganda oluvanyuma lw’okutuntuzibwa.
Kati amyuka omuwandiisi wa FDC Harold Kaija agamba bonna abaakwatibwa bakibiina kya FDC nga era bali mu mbeera mbi mu kkomera lye Ndolo mu Congo.
Kaija agamba nti baafuna amawulire nga abantu baabwe bwebayungibwako okubeera abayeekera ba ADF nga kati bakutwalibwa mu kitundu kye Beni gyebagenda okusimbibwa mu kkooti y’amagye.
Kaija agamba okuvunanira abantu bano mu kkooti y’amagye kimenya mateeka naddala nga n’abantu baabwe tebalina kyebamanyi ku musango guno.
Kati ekibiina kyakukwanga ekitebe kya Congo kuno ekiwandiiko ekyemulugunya ku nsonga eno.