Kkooti enkulu wano mu kampala eragidde abaakwatibwa 14 ku misango gy’okutta bamaseeka 2 okuli shiekhMustafa Bahiga ne Ibrahim Hassan Kirya bagende mu maaso n’okwewozaako.
Kino kiddiridde omulamuzi Justice Duncan Gaswaga okukakasa nga bano bwebaguddwako emisango 4 okuli ogw’obutujju, obutemu n’okugezaako okutta Sheikh Haruna Jjemba .
Nga tanawa kilagiro kino, omulamuzi Gaswaga alaze obujulizi bwebagenda okukozesa okuvunaana 14 bano era n’ategeeza nti kyetagisa bano balabikeko mu maaso g’abalamuzi 3 abagenda okuwulira omusango guno.
Kati abakwate bano okuli akulira abatabuliiki be Nakasero Sheikh Yunus Kamoga ne mugandawe Sheikh Siraje Kawooya bakomezebwewo mu kkooti omwezi ogujja nga 17th/October 2016 batandike okuwulira omusango gwabwe.
Kati bano bakulabikako mu maaso g’abalamuzi abasatu okuli Ezekiel Muhanguzi,Percey Tuhaise ne Jane Kiggundu .