Abakulembeze mu gombolola ye Makindye embwa ezitaayaaya zongedde okubalumya emitwe.
Kino kiddiridde abatuuze okwongera okwekubira enduulu ku mbwa zino eziva ku byokunonya ebyokulya ku kasasiro neziluma abatambuze.
Kati Meeya w’egombolola eno Ali Mulyanyama agamba ekileese obuzibu bebananyini mbwa zino abatiisatiisa abobuyinza okubakuba mu mbuga z’amateeka singa batta embwa zaabwe.
Mulyanyama era avumiridde ba crime preventers abakaalakaala n’embwa enyingi z’agamba zilabika zezimu ku zibalamerera neziluma abantu.