
Poliisi ye Kamuli eriko omukazi gw’ekutte n’omwana ateberezebwa okubeera omubbe.
Omukazi ono ategerekese nga Nambi i akwatiddwa n’omwana ono ateberezebwa okubibwa okuva e Busia.
Wabula ye Nambi agamba Mukwano gwe akola obwa malaaya e Busiya ategerekese nga mwajuma yeyamulekedde omwana ono nga agenze kwetundira Nairobi mu Kenya gy’agamba nti waliyo ku ssente eziwerako.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga North Michael kasadha agamba omwana ono bakyamukumira ku poliisi yaabwe nga okunonyereza bwekukyagenda mu maaso.
Ono agamban kyandiba nga omwana ono baabadde bagenda kumusaddaaka.