
Nga abasomesa bajaguza olunaku lwaabwe olwaleero, gavumenti esabiddwa okwongera okuteeka essira ku mutindo gw’abasomesa ssaako n’okulaba nga bakolera mu mbeera eyeyagaza.
Omulamwa gw’olunaku gugamba nti okutereeza embeera z’abasomesa mu kuleetawo enkulakulana.
Ssabawandiisi w’ekibiina ekigatta abasomesa mu ggwanga James Tweheyo ategezezza nga abaana bangi kati bwebasobola okugenda ku ssomero wabula omutindo gw’abasomesa gukyaliko akabuuza.
Tweheyo wano w’asabidde bonna bekikwatako okusitukiramu babanje ebyenjigiriza ebituukagana n’omutindo.
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni asuubirwa okubeera omugenyi omukulu ku kisaawe kya Cricket e Lugogo.