
Baasi ebadde ewenyuka obuweewo ekoonye abantu bana nebafiirawo.
Akabenje kano kagudde wali e Kasana Luweero
Baasi ya KK travelers namba UAM 348 H abantu bano b’ekoonye babadde batambulira ku pikipiki.
Ayogerera poliisi mu bitundu bya Savannah, Lameck Kigozi agambye nti piki eno abadde etuddeko abantu bana agivuga abadde asala mu luguudo.
Kigozi agambye nti akabenje kavudde ku kutikka kabindo eri owa Bodaboda n’owa baasi abadde avuga endiima