Kkooti eyimbudde omukyala eyakwatibwa ku palamenti wiiki ewedde.
Hamidah Nasimbwa ajjiddwaako emitwalo 30 ate abamweyimiridde nebalagirwa okuwa obukadde butaano ezitali za buliwo.
Kigambibwa nti bwezaali nga 27th September 2015 Hamida ne banne abaali bakulembeddwaamu meeya Mubarak Munyagwa beetaba mu kwekalakaasa ku palamenti ekimenya amateeka g’enkungaana
Omulamuzi wa kkooti ya Buganda road Flavia Nabakooza omusango agambye nti gwakuwulirwa nga 20th October omwaka guno.