Olukiiko lw’ebyettaka mu bwakabaka bwa Buganda olwa Buganda land board lwegaanye essomero lya Nabagereka primary school nti tebalirinaako bwananyini.
Bano bagamba gavumenti eyawakati y’agenda okubaddiza ebimu ku bintu bya Buganda nga akakiiko k’ebyettaka ak’eggwanga kamaze okugaba ettaka lino eri abakampuni ya Boost investments ku liizi ya myaka 99 okulikulakulanya .
Ekyali kisigalidde ye Buganda okumaliriza emisoso emirala egyali gikkanyiziddwako mu ndagaano.
Bw’abadde alabiseeko mu maaso g’akakiiko ka palamenti ak’enjawulo akatekebwawo okulwanyisa ekibba ttaka ly’amasomero, ssentebe w’akakiiko kano Martin kasekende ategezezza nga obwakabaka bwa Buganda bwebutaalina Mukono gwonna mu kugabira bamusiga nsimbi ettaka lino kubanga mukiseera kino lyali mu mikono gyagavumenti eyawakati.
Kasekende anyonyodde nti essomero lya Nabagereka Primary School lyebarinako obuvunanyizibwa likyaliwo mu Lubiri nga eryasendebwa lyali liteekeddwawo kiseera kigere okuyamba mu kusomesa abaana oluvanyuma lwa Obote okulumba Olubiri mu myaka gyenkaaga.
