Ekitongole ekikola ku bigezo mu ggwanga kitandise ku mulimu gw’okufuna omuwandiisi omuggya
Omuwandiisi w’ekitongole kino mu kadde kano Matthew Bukenya wakuva mu ofiisi nga 1st November era ng’ekigendererwa kyakufuna omusika we mu mwezi gwa December.
Ssentebe w’ekitongole kino Kakensa Mary Okwakol agamba nti ssabbiiti ejja bajja kulonda kkampuni egenda okukola omulimu gwonna era basuubira nti bakutambulira mu budde
Ono agambye nti olw’ebibuuzo byebaafuna okuva eri kaliisoliiso mu kuwandiisa omuwandiisi omuggya, bagaala kugoberera amateeka gonna omulundi guno.
