Skip to content Skip to footer

Ssemaka asse Mukyalawe n’omwana – naye yesse

 

Lamcek Kigozi

Abatuuze ku kyalo  Kaswa mu disitulikiti ye Luweero bakumye omuliro ku mulambo gw’omusajja gwebatebereza  okutta mukyalawe ne muwalawe oluvanyuma naye neyetta.
Omulambo gwa  John Nsigiriyarema Byaruhanga gusangiddwa abaana ababadde bagenze okukima amazzi ku bowa .

Kigambibwa nti omusajja ono yasoose kutta mukyalawe Rose Nanteza n’omwana mujja nanyina Marion Noreen ow’emyaka 16 era emirambo gyabwe n’agikumako omuliro.

Ssentebe w’egombolola ya  Katikamu Subcounty Samuel Serunjogi agamba omusajja ono y’amukubidde essimu n’amutegeeza nga bwasse  abantu 2 naye nga ssimwetegefu kugenda mu kkomera kale wakwetta.

Okusinziira ku batuuze, Nsigiriyarema abadde mupakasi nga era abadde akola emirimu egyenjawulo ku kyalo.

Emirambo gy’abatiddwa gitwaliddwa mu ddwaliro lye Kasana nga balinda ab’enganda zaabwe okujiddukira.

Leave a comment

0.0/5