Okugyako nga abawaabi ba gavumenti baweereddwa ebyetagisa mu kukola emirimu gyabwe, gavumenti yakumegebwa nyo mu misango egyenjawulo.
Kino kyasanguziddwa amyuka ssabawolereza wa gavumenti Mwesigwa Rukutana agamba okuwulira emisango kulina ekiseera ekigere kale nga nga abalamuzi betaaga okwetegeka obulungi naye nga balina ebikozesebwa ebyetaagisa.
Rukutana agamba ensonga eno esaana okutunulwamu okusobola okutereera.
Abawaabi ba gavumenti baagala kwongerwayo obuwumbi obusoba mu 3 okusobola okuwulira emisango egyetuumye mu makooti.
Akakiiko ka plamenti ak’ebyamateeka eggulo kategeezezza nga bwewaliwo emisango nga 6000 egyetagisa kumbi obuwumbi nga 4000.
