Poliisi ye Kyazanga mu disitulikiti ye Lwengo eriko abafumbo b’ekutte lwakutulugunya muzukulu waabwe ow’emyaka 3.
Isa Ssekamate ne mukyalawe Justine Nyirakihiza abatuuze ku kyaalo Kanyogoga bebakwatiddwa oluvanyuma lwa muliraanwa okwekubira enduulu ku poliisi nga okutulugunya kususse.
Akola ku nsonga z’abaana n’amaka ku kyalo Kanyongoga Gertrude Natoro agamba abafumbo bano omwana babadde bamusibira mu kasenge akamu awatali kumuwa kyakulya .
Omwogeziwa poliisi mu bukiika ddyo bw’eggwanga Noah Sserunjogi akakasizza okukwatibwa kw’ababiri nga era omwana yayisibwa bubi olwokutulugunyizibwa kwayiseemu.
Sserunjogi agamba omwana atwaliddwa mu ddwaliro nga n’omuyiggo gwa kitaawe eyamusuulira bazadde be bwekugenda mu maaso.
