Eyali omuduumiza w’amaggye ga Uganda mu ggwanga lya Somalia Brigadier Michael Ondoga yejjerezeddwa emisango egibadde gimuvunanibwa.
Kino kiddiridde oludda oluwaabi okujja enta mu misango egibadde kimuvunaanibwa.
Ondoga olwaleero abadde azze mu kkooti okusaba okweyimirirwa, kyokka bw’atuuse mu kooti omulamuzi n’amutegeeza nti emisango gyonna gimujjiddwaako.
Oludda oluwaabi lubadde lulumiriza Ondoga okuwa amawulire ag’obulimba ku Lt. Ali Muzoora eri omuduumizi w’amaggye g’eggwanga nti ono yali tasobola mulimu ate ngatamanyi na kwongera luzungu wadde ng’alina diguli.
Ono era abadde avunaanibwa n’emisango emirala 11 omuli n’okujingirira kyeeke z’ensimbi.