Poliisi e Kayunga ekutte bannanyini loogi 10 n’abazibaddemu 22 nebalugenderamu nga babalanga kubeera bazzi ba misango
Bano bakwatiddwa mu kikwekweto ekyakoleddwa mu kiro okukendeeza obuzzi bw’emisango
Atwala eby’okunonyereza ku buzzi bw’emisango Ayub Waiswa agamba nti bannanyini loogi zino balina okuwandiisa ba kasitoma baabwe tebataakoze ate bbo abantu beebasanze mu loogi zino abamu tebabaadde na biboogerako
Waiswa era agamba nti mu bikwekweto bino bazudde ebintue biwera okuli zi TV DVD, amasimu, emifaliso , leediyo n’ebirala