Kkooti enkulu egobye okusaba kw’eyali akulira bambega b’amaggye Gen. David Sejusa ng’asaba obutaddamu kumusindika ku mirimu gyonna.
KKooti agamba tebakitegeera oba ssejusa akyali mujaasi oba nedda.
Amyuka omuwandiisi wa kkooti Festo Nsenga agobye okusaba kwa Sejusa ng’agamba nti tasobola kusalawo ku nsonga yakuwumula kwa sejusa nga balina okusooka okuwulira obujulizi okuva ku njuuyi zombi.
Omulamuzi Lydia Mugambe akadde konna asuubirwa okuwa ensala ye mu musango guno