Skip to content Skip to footer

Obuli bw’enguzi bususse

Omulamuzi wa kkooti enkulu e Masaka eyawumula Kibuuka Musoke alaze obweralikirivu olw’abalabbayi abeyongedde mu ofiisi za gavumenti.

 

Omulamuzi kibuuka bino y’abyogeredde ku mukolo gw’okumusiima mu kulwanyisa obuli bw’enguzi n’okubeera omwerufu mu mirimu gye nga tannawumula.

 

Omulamuzi Musoke awadde eky’okulabirako eky’abaserikale ba poliisi abalina okukwasisa amateeka wabula nebadda mu kulya nguzi okuva eri abawaaba emisango nebebawawabira,

 

Abalala abasiimiddwa kuliko eyali omubaka wa municipaali ye Masaka  J.B Kawanga, omubaka w’e Lwengo Gertrude Nakabira, owe Kakuto Matia Kasamba ne ssenteeb wa  KACITA Everest Kayondo.

Leave a comment

0.0/5