Bya Kyeyune Moses
Omubaka we ssaza lye Bulamogi Kenneth Lubogo asabye palamenti okunonyereza kungeri ettendekero lya gavumenti erye Kyambogo gyeriremereddwamu okugaba zzi diploma eri abayizi mu matendekero gabasomesa, National Teachers’ Colleges.
Gavumenti mu myaka 8 ejitise, ebaddenga yeddukanya amatendekro gabasomesa okuva mu 2013, wabulanga waliwo okwemulugunya nti abafuluma tebawebwanga mabaluwa gaabwe, nga kibakumidde nemu bwavu nga tebaqweebwa mirimu.
Kati minister avunanyizibwa ku kutegera egwanga David Bahati agambye nti minister webyenjigiriza wakutangaaza ku nsonga eno olunnaku lwenkya.