Bya Samuel Ssebuliba.
Akakiiko ka palamenti akaaketebwewo sipiika wa Parliament Rebecca Kadaga okunonyereza ku bikolwa eby’okukabasanya abaana mu masomero , kyadaaki katandise emirimo gyako.
Kano akakiiko akakulirwa omubaka we Gomba west Robina Rwakojo kaatandise lunaku lwajjo, era nga kaasose na kusisinkana omubaka w’abavubuka Ana Adeke , nga ono yeyaleeta ensonga eno mu parliament
Mukwogera ono yagambye nti waliwo obwetavu obwokusaawo enkola eyamangu anaayamba amasomero okuwaaba ku police, singa balaba abaana abali embuto.
Kati ono yasuubuzza nti waliwo abaana bataano okuva mu Kibuli Senior Secondary school abeetegefu okujja mu kakiiko kano bawe obujulizi kubikolwa bino eby’okukabasanya abaana abawala mu masomero.