Ab’ekibiina kya FDC bakkatirizza nga bwebatagenda kuva kunkola yaabwe ey’okuwandiisa abantu kkumikkumi ku buli kyalo abagenda okukuuma akalulu kaabwe.
Ekkumi bano balina kubeera batuuze ku kitundu nga era webalondera.
Olunaku olw’eggulo ssabaduumizi w’amagye g’eggwanga Gen Katumba Wamala yalabudde abesimbyewo bonna obutageza kutondawo bubinjabwebuti kubanga bujja kuleeta akavuyo.
Mu kumwanukula,ssentebe w’ekibiina kya FDC Wasswa Biriggwa ategeezezza bannamawulire ng’ekibiina kye bwekiri ku mulamwa nga n’abantu bano ssibakubi bamiggo wabula bakukuuma kalulu.