Gavumenti esabiddwa okulwanyisa obuli bw’enguizi mu poliisi y’okunguudo okusobola okulwanyisa obubenje ku nguudo.
Nga akulembeddemu emmisa y’okusabira omwo gw’omubaka omukyala owe Bukomansimbi Susan Namaganda ku lutikko e Lubaga, Msgr Charles Kasibante ategezezza nga obuli bw’enguzi bwebuviriddeko obubenje okweyongera ku nguudo.
Ategezezza nga abagoba b’ebidduka abatalina bisanyizo n’abavuga emmotoka zi ganyegenya bwebeyibaala olw’ekyojja mumiro kyebawa abaserikale ababayimiriza olwo nebavulumuma mmotoka ezivaako obubenje.
Omugenzi amumenye nga omuntu abadde ow’e ddembe.
Omulambo gw’omugenzi gusuubirwa okutwalibwa ku palamenti ku ssaawa 6 ez’emisana ababaka bajjukire ebirungi omugenzi by’akoledde eggwanga.