Ab’ekibiina kya FDC olwaleero lwebasubirwa okuwayo anabakwatira bendera mu mukago oguvuganya gavumenti ogwa the Democratic Alliance.
Dr. Kiiza Besigye, wakwegatta ku ssenkaggale w’ekibiina kya DP Norbert Mao n’eyali omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Prof Gilbert Bukenya abesogga edda olwokaano
Mungeri yeemu eyali ssabaminisita John Patrick Amama Mbabazi alina okutuusa olunaku lwenkya okugyayo n’okuzzayo foomu z’okusunsulibwa bwaba wakwegatta ku mukago.
Omukago guno gulina okutuusa nga 14 ye mande ejja okuvaayo n’anabakwatira bendera mu kulonda kwa pulezidenti.