
Akakiiko kalondesa olwaleero kawandikidde eyali ssabaminisita Amama Mbabazi nga kamuyimiriza okukuba enkungaana kubanga obudde tebunnaba kutuuka
Omuwandiisi w’akakiiko Sam Rwakoojo agamba nti Mbabazi alina kwebuuza ku bantu mu nkiiko entono sso ssi nkungaana nga bw’akola
Mbabazi n’olwaleero agenze mu maaso n’okwebuuza ku bantu ng’abadde Kapchorwa.
Mbabazi agamba ekimuleese kulwanirira abavubuka.
Bw’abadde ayogerako eri abantu be Kapchorwa, Mbabazi agambye nti ekimwagaaza entebe ssi kwekkusa wabula kutaasa abavubuka abalabise nga bayinza okuviiramu awo.
Ono azzeemu okweyama okuwereeza bannayuganda n’omutima gumu era n’asaba abantu okuwagira enkyukakyuka.
Mbabazi obwedda buli lw’atuuka mu bubuga asanga abantu bamulinze era ayimiriziddwa emirundi egisoba mu 20 okuva e Mbale okutuuka e Kapchorwa
Ono yatandise okwebuuza ku balonzi ku nteekateeka ze ez’okwesimbawo olunaku lwajjo e Mbale wakati mu nasiisi w’omuntu .