
Bannakenya basumattuse bbomu ebadde etegedde mu ssemaduuka amanyiddwa nga Garden City mall.
Abasajja basatu beebakwatiddwa nga kigambibwa nti babadde bateze bbomu zino poliisi z’esobodde okulemesa okubwatuuka
Okusinziira ku beerabiddeko n’agaabwe , omu ku bakwatiddwa kigambibwa okuba ng’agaanye okumukebera kyokka abakuumi nebamusinza amaanyi.
Mu mwaka gwa 2013, aba Alshabaab balumba ssemaduuka wa Westgate nebawamba abaliimu okukkakkana nga basse abantu 67