Skip to content Skip to footer

Judith Babirye ayagala kye Buikwe, Nabakooba agenze mityana

File Photo: Eyaali owogezi wa police nabakooba
File Photo: Eyaali owogezi wa police nabakooba

Omuyimbi Judith Babirye aggyeeyo foomu okwesimbawo ku kifo ky’omubaka owe Buikwe

Ng’ayogerako eri bannamawulire oluvanyuma lw’okujjayo foomu mu kibiina kya NRM, Babirye agambye ekimuleese kuwereeza bantu era ng’ayagala aweebwe bendera ya NRM agitambuze Buikwe.

N’eyali omwogezi wa poliisi Judith Nabakooba naye amaze okujjayo foomu era okukiikirira abakyala be Mityana.

Abalala abajjeeyo foomu kuliko eyaliko omubaka we Bukoto South Hajji Muyamba Mbabaali.

Akulira akakiiko ka NRM akalondesa Tanga Odoi agambye nti abantu abawera bajjeeyo foomu era tebannafuna kwemulugunya kwonna okuva eri bannakibiina.

Kawefube ono wakufundikirwa nga 31 omwezi guno.

Leave a comment

0.0/5