Waliwo ekibinja ky’abakungu b’ekibiina kya DP e Masaka abaweze okuzira ttabamiruka w’ekibiina lwamivuyo

egyetobeka mu kulonda abakulembeze b’ekibiina ku mitendera egyawansi.
Abakungu b’ekibiina kino bemulugunya nti enfunda eziwerako bazze basaba okulonda kw’e Masaka kuddibwemu wabula nga bekikwatako tebafuddeyo ku nsonga zaabwe.
Omu ku bano omubaka wa Bukoto East Florence Namayanja agamba ebiseera bingi bekubidde enduulu awatali ayamba nga kati bamaliridde okukwanga olukiiko lw’ekibiina olufuzi ekiwandiiko ekibalabula singa tebabafako bakuzira ttabamiruka.
Omwezi oguwedde abakulembeze b’ekibiina kya DP e Masaka baziimula ekitagiro kya ssabawandiisi w’ekibiina Mathias Nsubuga obutagenda mu maaso nakulonda kuno mwebalondera Fred Mukasa Mbidde nga ssentebe wa DP e Masaka.