Poliisi ye Mukono eriko omusajja ow’emyaka 44 gwekutte lwakusobya ku muwalawe ow’emyezi 5 n’aleka nga amunuubudde mu bitundu bye eby’ekyama.
Omukwate ategerekese nga Paul Okwale nga era mutuuze mu gombolola ye Mpatta e Mukono.
Kagwensonyi ono okukakkana ku bujje lino mukyalawe Contress Achagi y’abadde tali waka nga amulekedde obuvunanyizibwa bw’okukuuma muwala waabwe .
Omukyala agamba olwakomyewo ewaka y’asanze omuwere ono akaaba nga Okwale ye teyefiirayo wabula agenda okumukebera nga yenna anuubuddwa mu bitundu bye eby’ekyama.

Amyuka akulira okunonyereza ku misango ku poliisi ye Mukono Fred Muhanguzi akakasizza ekikolwa kino n’ategeeza nga Okwale bw’agenda okuggulwako ogw’okujjula ebitanajja nga n’omwana bwebamututte dda mu ddwaliro lya Health Centre 4 gy’ali mu kujanjabibwa.